Kayihura Talabiseeko Mu Paalimenti

0
969

Ababaka ba paalimenti abatuula ku kakiiko akavunanyizibwa ku by’okwerinda olwaleero beekandazze ne bafuluma olukiiko, ng’entabwe evudde ku ssaabaduumizi wa police Gen Kale Kayihura obutajja mu kakiiko nga bwe kyabadde kisuubirwa.
Kayihura yabadde asuubirwa mu kakiiko ako, abeeko by’annyonnyola eggwanga naddala ku bikolwa bya poliisi eby’okutulugunya bannayuganda.
Kayihura talabiseeko wabula atumye basigire, kino kiggye ababaka mu mbeera, ne balumiriza Kayihura okubayisaamu amaaso.