Abalamuzi Mubaleke Bakole – Bart Katureebe

0
1018

Bibadde bikyali bityo ne ssaabalamuzi n’avaamu omwasi, n’akolokota nnyo ebyakoleddwa abawagizi ba ssaabapoliisi Gen. Kale Kayihura olunaku olw’eggulo, mu kuwakanya ekya Kayihura ono okujja mu kkooti. Ssaabalamuzi Bart Katureebe agambye nti, kuno kwabadde kuwamba buyinza bwa kkooti kwennyini, kko okwolesa obwavu bw’empisa mu bantu abaakoze effujjo ku kkooti era nti baalinnyiridde eddembe ly’abalala, ko n’okulemesa kkooti okukola ogwaayo obulungi.