KCCA: Emyala Gikyagosoomooza Naye Efuba

0
1096

Kampala kye Kibuga ky’eggwanga ekikulu era buli muntu yegomba okukituukamu n’okukibeeramu, kyoka wadde nga kisanyusa bangi era abamu batunda n’ebyabwe okukiyingira naye era kirina njolo bekinyiga.
Okusomooza kungi mu Kampala wano kyokka ekitongole ekiddukanya ekibuga ekya KCCA buli lukya kiyiiya butya bwekiyinza okutereeza embeera.
Leero tutunulidde emyala egiri mu Kampala nadala mu ggombolola ye Kawempe abantu gyebasula nga batangira amazzi obutayingira mayumba gabwe.