Kkooti Eyisizza "Kibakuntumye" Eri Baguma

0
1276

Kkooti ya Buganda Road elagidde nti eyali omuduumizi wa Poliisi ya CPS mu Kampala Aaron Baguma atwalibwe bunambiro mu kooti obutasukka lwakuna sabiiti ejja awatali kulemerelwa
Baguma abadde yebalama okweyanjula eri kooti okuva mu December omwaaka oguwedde omuwaabi wa gavumenti lweyamuyita
Omulamuzi Jamson Karemani alagidde police eleete Baguma mu kooti kulwokuna awatali kulemerelwa, avunanibwe emisango gy’okutemula omusubuuzi Katusabe Betty.
Ono avunanibwa wamu n’omusubuuzi wa motoka Mohamed Sebuwufu ono nga ye ali ku alimanda eLuzira
Omuwaabi wa gavumenti Jonathan Muwaganya yasabye kooti okutumya Baguma bwawaddeyo ebiwandiiko ebivunana ebikyusidwamu.
Nga Baguma tanawerezebwa bbaluwa bakuntumye, omuwaabi wa gavumenti omukulu Mike Chibita yasooka kuwandiikira akulira ekitongole kya police ekinonyereza ku buzzi bw’emisango Grace Akullo, okussa omukono ku bbaluwa era baleete Baguma mu kooti avunanibwe kyokka police emaze ebbanga ng’egamba nti tefunanga bbaluwa eyota Baguma.