Ssaabalamuzi Akunze Abalamuzi ku Nnono

0
1093

Ssaabalamuzi wa Uganda Bart Katureebe alabudde abalamuzi ku mize egibavumaganya omuli obulyi bw’enguzi, okudibaga ekitiibwa ky’omulimu gwabwe, okwosaayosa ku mulimu ekivuddeko emisango okwetuuma, n’ebirala.
Ssaabalamuzi asinzidde mu musomo ogw’okubangula abalamuzi abaakalondebwa, n’abasibirira entanda banywerere ku mateeka n’ennono z’omulimu gwabwe.