19 Bavunaaniddwa Gwa Kulya Mu Nsi Lukwe
Gavumenti nate eggudde buto emisango emirala ku basibe abavunaanibwa okuba n’omukono mu kutemulwa kw’abakulembeze b’obusiraamu.
Ssaabawaabi wa gavumenti aliko abasibe 19 kw’abo 32 balonzeeyo, abagguddeko emisango emirala 2 omuli ogw’okulya mu nsi yabwe olukwe n’ogwokusirikira ebikolwa eby’obutujju bye baali bamanyiiko.
Bano gavumenti yabaggulako dda emisango emirala 4 egyekuusa ku butemu buno.