Ababaka Bazzeemu Okwebulankanyamu Nteesa

0
1057

Nnamujinga eyasenkenya paalimenti ey’omwenda nate atandise okusensera ne paalimenti ey’ekkumi, etannaweza wadde omwaka ogumu okuva lwe yatandika emirimu gyayo.
Nnamujinga ono si mualala wabula kwe kwosayosa kw’ababaka n’okwebulankanya mu ntuula za paalimenti.
Olwaleero sipiika wa paalimentyi Rebecca Kadaga akiguddeko, bw’atuuse okukubiriza olukiiko nga kumpi entebe zonna nkalu.