Omulamuzi Alagidde Baguma Bamuleete mu Kkooti Kumpaka

0
246

Eyali omuduumizi wa police eya CPS mu Kampala Aaron Baguma eyamwalula esiridde, kkooti enkulu eyisizza ebbaluwa eragira akawatibwe atwalibwe mu kkooti ku buwaze, awerennembe n’omusango gw’obutemu.
Kiddiridde Baguma obutalabikako mu kkooti leero, so nga kooti yafulumya dda ebbaluwa bakuntumye emuwaliriza okujja mu kkooti, omulamuzi bw’alabye atyo kwe kulagira poliisi emuyigge yonna gy’ali emutwale avunaanibwe.
Omupoliisi ono avunaanibwa wamu n’abasibe abalala 9 okuli ne nnannyini kibanda kya mmotoka Hajji Muhamed Ssebuufu ku musango ogw’okutta Betty Katushabe.

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here