Obunkenke mu KCCA: Mulira Kata Akutule Ba Mmeeya Emitima

0
1240

Ba meeya b’ebibuga ebitaano ebikola Kampala kata baabike emitim mu lukungaana, Puliida omukukutivu Peter Muliira bw’akabatemye nti kampala teyeetaaga woofiisi ya muloodi meeya mu kiseera kino nti era teri mu mateeka agafuga eggwanga lino.
Mu lukungaana luno abakulembeze ba Kampala bonna mwe basisinkanye okutema empenda butya bwe bayinza okutwala Kampala mu maaso.
Entaputa ya puliida ono etabudde ba mmeeya era bakira obwedda akwata akazindaalo ng’ayogeza busungu.