Ekikonde Kate Kinyooke ku Paalimenti

0
1098

Wabaddewo katemba mu paalimenti olweggulo lwa leero omubaka wa Budadiri west Nathan Nandala Mafabi bwavudde mu mbeera n’alumba omubaka wa Nakifuma Robert Kafeero Ssekitooleko, nga amulanga kusaba lukusa lwa paalimenti agende abage ebbago ly’etteeka erijja ekkomo ku myaka gya pulezidenti, abalamuzi n’abakozi ba gavumenti abalala kwebawummulira.
Bano babuzeeko katono ebifuba bibabugume, Nandala bw’alondodde Ssekitooleko mu woofiisi y’omuwandiisi wa paalimenti n’atandika okumulangira nga bwali kali nkwe, asazeewo okulya mu bannayuganda olukwe ye afune omusimbi.