Kyaddaaki Ekikopo Kituuse e Buddu

0
329

Oluvanyuma lwa Buddu okuwangula okuwangula ekikopo ky’amasaza ku lunaku olw’omukaaga wiki ewedde, kyaddaaki ekikopo kituuse mu buddu nga eno kyaniriziddwa wamu n’abazannyi mu ssanyu eritagambika.
Buddu oluvanyuma lw’okumegga Gomba mu mupiira ogwaliko n’obugombe mu kisaawe e Namboole, yasalawo okusooka okutalaaga ebintu bya Buganda ebyenjawulo nga bwebalaga abaasomoka Lwera nga enjola y’ennaku zino bweri, balabe essanyu lyabaatuukako.
Katino twagala gwegatta ku munnaffe agatusakira mu bbendobendo ly’e Masaka Magembe Farish ali mu kubuga Masaka e ssaawa eno, atuwe embeera nga bweri mu ssaza lya ssaabasajja kabaka lino.

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here