Tekyali Kuddamu Kugaba Pyapa – Gavumenti

0
1102

Gavumenti erekede awo okugaba ebyapa ku ttaka lya gavumenti ne ly’olukale gamba nga ebisaawe, ettaka ly’enzizi, ery’ebibira n’awalala, nga kino kidiride abantu okwongera okwesenza ku ttaka lino olwo nebaliyita eryabwe.
Gavumenti egamba nti ekooye okulwanagana n’abasenze ku ttaka lyayo nga bangi bagenda nebalifunako ebyapa n’ebiwandiiko mu bukyamu olwo okubagobawo nekigibeerera kizibu nga yo oluusi yesanga nga terina biwandiiko bituufu ebikwata ku ttaka lino.