Namwandu wa Kasiwukira Yeeganye Okutta Bba

0
1097

Amalala agavudde mu kkooti, Nnamwandu w’omugenzi Kasiiwukira Sarah Nabikolo leero lwatandise okwewozaako ku musango ogumuvunaanibwa ogw’okuba n’akakwate mu kufa kwa bba.
Nabikolo yeeganye ebigambibwa nti yakwata mu k’awaligo n’abaako basasula okumuttira bba.
Nga ayambibwako munnamateeka we McDusman Kabega, Nnamwandu era yesambidde ddala ebigambibwa nti okutuukiriza ettemu lino yeekobaana ne muganda we mpozzi n’omuserikale wa poliisi nga bwebavunaanibwa.