Ssente Z'okutegeka Okulonda Kw'ebyalo Teziiriwo

0
1099

Essuubi ly’okutegeka okulonda kwa ba ssentebe b’ebyalo werituuse liweddewo oluvannyuma lw’akakiiko k’ebyokulonda okubotola ekyaama nga gavumenti bwetakawa nga wadde omunwe gwennusu okutuukiriza okulonda kuno.
Bwebabadde beeyanjudde mu kakiiko ka paalimenti akavunanyizibwa ku bakozi ba gavumenti n’e gavumenti ez’ebitundu, abakungu okuva mu kakiiko k’ebyokulonda bategeezezza ababaka nti okunenyezebwa ssi kwabwe wabula kwa gavumenti eyalemwa okutuukiriza eky’okuvujjilira ensimbi mu kulonda kw’ebyalo.