Muyimirize Okuwummuza Abakozi Ba Gavumenti – Ba Puliida

0
1002

Ensonga y’emyaka abakozi ba gavumenti kwe bawummulira ekutte wansi ne waggulu era efuuse kagiiko nnattabula, kati waliwo ba puliida abaddukidde mu kkooti nga bagamba nti etteeka erissaawo abakozi n’okubawummuza lirimu ebituli.
Abakozi ba gavumenti bawummulira ku myaka gya njawulo, eriyo abawummulira ku myaka 60, 70 ne 75, ekintu ba puliida bano kye bagamba nti si kya bwenkanya, nti etteeka lisooke likolwemu ennongoosereza.
Basabye gavumenti esooke eyimirize eky’okuwummuza abakozi okutuusa ng’etteeka ligonjoose.