Abee Kisoro Balumbye NAADS Lw'amajaani

0
994

Abakulembeze ba disitulikiti y’e Kisoro balumbye ofiisi za NAADS wano mu kampala nga baagala basasulwe ensimbi ze babanja ekitongole kino, ze bagamba nti baaguza gavumenti amajaani n’etabasasula.
Bano nga bakulemberwa ssentebe waabwe Abel Bizimana bagamba babanja gavumenti obuwumbi munaana mulamba oluvannyuma lwa gavumentyi okubapatana okugiguza ensigo y’amajjaani mu nteeketeeka ya NAADS