Katikkiro Alidde mu Ttama Lwa Ttaka Lya Kabaka

0
1173

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akyomedde abantu abeenonyeza ebyabwe nga basala olukujjukujju okunafuya Kabaka n’okumujjako obuyinza bwalina ku ttaka lye.
Katikkiro bwabadde ayogerako eri olukiiko lwa Buganda ategeezezza nti eriyo n’abakozesa emikutu gy’amawulire nga banafuya ensonga y’okutereeza obutuuze ku ttaka.