Ababaka 70 Tebagenda Kuweebwa Mmotoka

0
1065

Ababaka ba paalimenti abawerera ddala 70 beekaabire, bano si baakugabana ku nsimbi obukadde 100 ez’okugula mmotoka kapyaata ezitemya ng’abantu.
Olwaleero paalimenti lw’etandise okuwa ababaka ensimbi ezo, newankubadde abamu bakyemulugunya nti akasente tekannatuuka mu bittavvu byabwe.
Wabula bannaabwe 70 bandikoma ku munaabo, ensimbi ezo baakuzikonga lusu lwa nsonga nti bakyalina emisango mu kkooti.