PoliIsi Tekyasobola Kussa Mafuta mu Mmotoka Zaayo Zona – Kayihura

0
1025

Ssabapoliisi wa Uganda Gen Kale Kayihura alagidde basajja be abadumira police ku mutendera gwa zi disitulikiti ba DPC batandike okukolagana na bakulembezze basobole okufunayo ku mafuta ye gagamba nti police tekyasobola kussa mu motoka zayo zona buli kaseera.
Kayihura agambye nti embalirira ya police yakendezebwa nnyo nga mukiseera kino abasirikale balina kusabiriza sente za mafuta okuva mu bakulembeze ba disitulikiti, kampuni wamu nabantu sekinoomu abagaliza police ebirungi.