Banka Enkulu Esaze ku Magoba

0
894

Banka y’eggwanga elangiridde nga bwekendezezza ku muwendo ogwewolebwa banka endala nga kino kisuubirwa okugonjoola ekizibu ky’ebyenfuna by’eggwanga ebibadde bitandise okusereba nga kiva ku miwendo egiggyibwa ku nsimbi ezewoleddwa egiri waggulu.
Pulof. Emmanuel Tumusiime Mutebile asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire nategeeza nga omuwendo bwegukendezeddwa okuva ku bitundu 14% okutuuka ku bitundu 13% nga nabwekityo kino kisuubirwa okweyolekera ne mu banka endala.