Bannamubende Bakooye BasSentebe Ba LCI

0
941

Abatuuze ku byalo ebitali bimu mu district y’e Mubende batandise okulumba ebitebe by’amagombolola gaabwe nga baagala abakulembeze bawalirize Gavt etegeke mangu okulonda kwa bassentebe by’ebyalo ku abaliko babakooye.
Bagamba nti okulwa ennyo ku bukulembeze kubafudde ba kiwagi ng’enfunda nnyingi beekobaana ssaako okuzibira abamenyi b’amateeka ekivuddeko ebyalo okutabanguka.