Viza Ya Uganda Erinnye Ebeeyi, Ya Kaweereege

0
1174

Waliwo abateeberezebwa okubeera ba lumira mwoyo abawererea ddala 68 ebitongole ebikuuma ddembe bebiremesezza okuyingira Uganda.
Okusinziira ku mawulire agavudde mu ministry y’ensonga z’omunda, bano baazuulibwa ku ngeri gyebaasabamu Visa ebakkiriza okuyingira eggwanga eri ku mutimbagano era nga wano abebyokwerinda webaabatebukira nebammibwa Visa.
Enkola eno ey’okusaba Visa ekyaali empya yakamala emyezi esatu gyokka wabula nga gavumenti mmativu nti yakuyambako okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.