FUFA Yaakusiima Abazannyi ne Kapyata

0
1091

Denis Onyango Farouk Miya ne Joseph Ochaya bebamu ku bagenda okuvvonkanira ekirabo ky’omusambi w’omwaka mu mpaka za FUFA eza FUFA awards 2016 ezinabera ku wooteri ya Speak Resort Munyonyo nga 2nd December omwaka guno.
Guno gugenda kuba mulundi gwakubiri nga FUFA etegeka empaka zino nga ogw’asembayo Farouk Miya ye yawangula era nabuukawo ne Kapyata we Motoka.