Abalamuzi Babanguddwa ku Bakkiriza Emisango

0
993

Ekitongole ekiramuzi kyongedde okubangula abalamuzi ba kkooti ento ku nkola y’okusala emisango nga basinziira ku kukkanya wakati wo muwaabi n’omuwawabirwa mu nkola eyagungizibwawo gyebuvuddeko emanyiddwa nga Plea bargaining.
Essiga eddamuzzi lirina essuubi nti nga liyita mu nkola eno, omujuzzo mu makomera n’obungi bwe misango egirwa nga tegisalibwa gyakukenderera ddala.