Basajjabalaba Alumiriza Lukwago ne Kayihura

0
899

Nagaga era omu ku baatikirivu mu Kampala Hassan Basajjabala alumirizza Ssabadumizi wa poliisi mu gwanga General Kale Kayihura ne Lord Mayor w’ekibuga Ssalongo Erias Lukwago okuba emabega we ensimbi ezisoloozebwa mu lufula eya City Abatoir ate nga KCCA nekitongole kya URA tebazimanyaako mayitire.
Bassajjabalaba abuulidde ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’obwa presidenti nti obukadde bwe ensimbi 10 eza uganda zezisolozebwa buli lunaku okuva mu lufula eno wabula nga amayiitiire gaazo ne nanyini kiifo tebimanyiddwa.