Empaka Za Mmotoka Zitandika Nkya e Jinja

0
1227

Mu mpaka za motoka ze mpaka ezisembayo ku kalenda y’empaka z’emmotoka z’empaka ez’eggwanga,olwaleelo emmotoka ezigenda okwetaba mu mpaka zino olunaku olw’enkya lwezekebejeddwa okukakasa nti webukeerera enkya ziba nnamu bulungi okusobola okumazaako obulungi abagenda okuzivuga.
Mu kiseera kino amaaso gatunuulidde nnyo abavuzi Jas Mangat ne Hassan Alwi nga ku bano kwekusuubirwa okuva omuwanguzi w’enguli yempaka zino eza National Rally Championship.