Kanyamunyu ne Banne Bagguddwako Gya Butemu

0
1231

Omusuubuzi w’omu Kampala Mathew Kanyamunyu ne banne basuze ku alimanada e Luzira, oluvannyuma lw’okuggulwako omusango gw’okutta omugenzi Kenneth Akena wiiki eyayita.
Kanyamunyu ne muganzi we Cynthia Munwangali gattako muganda we Joseph Kanyamunyu olwaleero batwaliddwa mu kkooti e Nakawa era omulamuzi tabaganyizza kwewozaako n’abasindika ku mere e Luzira.