Abasoba mu Mutwalo Bakusengulwa e Busaabala

0
1172

Gavumenti emalirizza enteekateeka ez’okuliyirira abatuuze b’e Kyamula, Salaama ne Busaabala abagenda okuyitwamu oluguudo olupya. Abakungu b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo ekya UNRA bakedde kusisisinkana abatuuze b’e Kyamula abagenda okusengulwa  wayitewo oluguudo lwa Kampala Jinja Express Way. Abatuuze basoose kwemulugunya nti UNRA yabalaalika dda nga bwegenda okubasengula abamu ne bava ne mu nju zaabwe naye tewali kyali kibaddewo.