Bannantameggwa Ba Kenya Batuuse Kuno

0
1254

Tiimu ya Tusker FC eyawangula ekikopo kya liigi ya ba binwera e Kenya etuuse mu ggwanga enkya yalero okwetegekera omupiira ogw’omukwano ne ba nnantameggwa ba Uganda aba KCCA FC ogunaberawo okwosa enkya ku lw’omukaaga.
Bano nga bakulembedwamu omutendesi wabwe Paul Nkata bategezeza nbs nti guno omupiira gwa kubayamba okwekebera nga beetegekera empaka za kiraabu empanguzi ku semazinga wa Africa eza CAF Champions liigi.