Tetukyalina Nsimbi za Malwaliro – Kanisa

0
1074

Ekkanisa ya Uganda yeesanze mu kaseera akazibu nga tekyasobola kuwanirira malwaliro gaayo mu by’ensimbi. Ekitongole ekiddukanya eby’obulamu mu kkanisa ya Uganda ki Uganda Protestant Medical Bureau bwe kityo kitegese olukungaana okusalira awamu amagezi ku mbeera y’abalwadde, kubanga bangi bagenda mu malwaliro nga tebalina nsimbi za bujjanjabi.