Bannaddiini Baagala Omusinga ne Museveni Bateese

0
1228

Ekibiina ekigatta abakulira enzikiriza ezenjawulo mu ggwanga ki Inter Religious Council of Uganda kivumiridde ne ssekuvumilira ekitta bantu ekyeyongedde mu district eye Kasese, bwebatyo abatuula ku lukiiko luno nebasaba wabeewo okuteeseganya wakati wenjuyi ezirwanagana basobole okukomya okuyiwa omusaayi gw’a ba Nalumanya ne ba Ssaalumanya.
Bannaddiini bwebatyo era basabye Omukulembeze w’eggwanga okuyingira mu nsonga zino atuule n’Omusinga bateme empenda ku ngeri y’okukomyamu akasambattuko kano era n’okunonyereza kukolebwe embeera eno erinnyibwe ku nfeete.