NBS Television Etenderezebwa Olwa Paapa

0
1240

Mu kiseera bannayuganda bwebaali balindiridde okwaniriza Omutukuvu Paapa Francis ku kukyaala kwe okwennaku essatu, wano ku NBS kaali keetalo anti twasula nga tetweebase okwo kwossa n’okwesonyiwa okulya nga tuluubirira okuweereza obulungi abalabi baffe mu Uganda ne mu nsi yonna.
Akeetalo kano kajjawo amangu ddala nga Gavumenti elangiridde nga bweyali etuwadde olukusa okuweereza obutereevu okukyala kwa Paapa n’okuwa Television endala ebifananyi.
Abakulu mu NBS n’abakozi buli omu okukyaala kwa Paapa akutenda bubwe…