Poliisi Eziimudde Kkooti, Eremedde Ewa Besigye

0
1238

Poliisi ya Uganda egaanye okussa ekitiibwa mu kiragiro kya kkooti ekyagiragidde okwamuka amaka ga munna FDC Dr Kizza Besigye agasangibwa e Kasangati ku nkingizzi za Kampala.
Kkooti y’e Kasangati yal;agidde Police obutaddayo kugumba mu maka ga Besigye kubanga amaka ago si kkomera.
Wabula olwaleero we bukeeredde nga abapoliisi batevuunya nga munyeera ewa Besigye, tebamukkiriza kuva mu makaage wadde abamukyalira.