Omusango Gw'amafuta Gubizadde

0
1331

Ababaka ba palaamenti abeegattira mu kisinde kyebayiise “NRM Members of Parliament Thinktank” basabye sipika wa Palamenti Rebecca Kadaga ateekewo akakiiko ak’enjawulo kanoonyereze ku kyebayise munyago gw’obuwumbi omusanvu obwagabanyizibwa abakungu ba gavumenti 42 abaali mu musango gwa Gavt ya Uganda ne kampuni y’amafuta eya Tullow.
Ababaka bano baagala era okumanya lwaki ekitongole ekiwooza musolo ekya URA kyasasudde abantu bano omusimbi ogwo gwonna ate nga waliwo bangi abakoledde eggwanga lino ebirungi ne batabaako kyebafuna.