Nankulu wa URA Adukidde Wa Kadaga

0
1302

Akulira kkooti etapputa Ssemateeka Omulamuzi Steven Kavuma ayimirizza Palamenti okuteesa kunsonga z’akasiimo ak’obuwumbi omukaaga akaaweebwa abakungu a 42 nga Pulezidenti abasiima okuwangulira Uganda omusango gw’amafuta.
Omulamuzi Kavuma era ayimirizza emikutu gy’amawulire ggyonna wamu ne Bannayuganda bonna okukomya okwogera kunsonga zino okuva leero.
Bino byonna bidiridde Munauganda Eric Sabiiti nga y’akulira ekitongole ky’amateeka mukaakkiiko akakola kubyokulonda okwekubira enduulu mu kkooti etapputa ssemateeka ng’agamba nti palamenti terina buyinza bwonna kuyingirira mirimu gy’olukiiko lwa baminisita.