Abatakiza N'ameenunula Mbasekeredde – Besigye

0
1206

Munna FDC, Rtd Col. Dr. Kizza Besigye nga yoomu ku bannansiko abaaleeta gavumenti eriko mu buyinza ye agamba nti talaba nsonga lwaki Gavt ya NRM eyonoona omusimbi gw’omuwi w’omusolo ng’ejaganya olunaku lw’amenunula kuba ekyabatwala mu nsiko baakivaako dda.
Mu kulaba okukwe, Besigye agamba nti wadde olwaleeo emmundu tezivuga, naye Bannayuganda bangi basula bakukunadde nga lumonde mu bikata anti ennaku ebayonka butaaba nga naabamu ez’okuzza eri omumwa bawamma kiwamme, ensimbi nazo bezinoonyeza mu kiwato kweggamba embeera mwebawangaalira mbi nnyo nti teyawukanako neeya eya 80.