Ababadde mu Takisi Ttuleera Ebagoyezza Bonna

0
1226

Akabenje ddekabusa kagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja nekaleka abantu 16 nga zembuyaga ezikaza engoye.
Akabenje kano, kabadde wakati wa mmotoka 2 ey’ekika kya taxi ne lukululana.
okusinziira ku beerabuddeko naagabwe, taxi ebadde eva mu bitundu by’e Jinja nga edda e kampala eyabise omupiira, olwo neeremerera omugoba waayo neeyambalagana bwenyi ku bwenyi ne lukululana ebadde eva e Kampala okudda mu bitundu bya Busoga.
Abantu 16 bafiiriddewo ate abalala nebabuuka neebisago.
Abadduukirize nga bakolaganira wamu ne poliisi bayoddeyodde abapooca n’ebiwundu nebabaddusa mu malwaliro ag’enjawulo okufuna obujjanja nja n’emirambo wetujjidde ku mpewo nga gitwaliddwa mu ggwanika.