Gavumenti Eboggoledde Ba 'Olympics' Olw'okubajemera

0
1083

Akakiiko k’eggwanga akavunaanyizibwa ku by’emizannyo aka National Council of Sports kalidde mu ttama, nekaboggolera akakiiko akatwala omuzannyo gwa Olympics aka Uganda Olympics Committee okwetuminkiriza n’okunyomoola ekiragiro ky’abakulu bano ku nsonga z’okulonda obukulembeze.
NCS egamba nti emputtu aba UOC gyebaayolesa olwomukaaga lwa sabiiti ewedde bwebaddamu nebalonda William Blick okuddamu okukulira Olympics mu ggwanga kyokka nga NCS yali ebiriyimirizza, bajja kukyejjusa.