Abaali Bakolera Bweru Balulojja

0
1149

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga bawunikiridde, abamu ku bawala abaali abakozi b’awaka mu mawanga ga buwarubu bwebalombozze ennaku abakozi gyebakoleramu mu mawanga ago.
Bano bannyonnyodde nti batulugunyizibwa ebitagambika bakama baabwe, omuli okubakaka omukwano ekirindi, obutabawa meere, okubakozesa emirimu egityoboola ekitiibwa ky’omuntu n’ebirala.
Ababawala bano mukino basabye gavumenti yaakuno ebaage amateeka amakakali enyo eri kampuni ezitwala abakozi.