Akakiiko Akakola ku Nnongosa Z'ebyokulonda Tekalondebwanga

0
1159

kakiiko k’ebyokulonda aka Electoral Commission kasabye gavumenti eyanguyirizeeko okwanjulira palamenti ye kumi enongoseleza mu mateeka g’ebyokulonda gebaasubiza nga palamenti yomwenda eggwako.
Okusinzira ku kamisona w’akakiiko ky’ebyokulonda era nga yaliko Ssentebe w’akakiiko ka palamenti akakola ku mateeka n’ensonga za palamenti Steven Tashobya,kikwasa enaku okulaba nti gavumenti emaze omwaka mulamba nga tenaba nakutekawo kakiiko akakola akagenda okwekenya enongoseleza ziino aka Constitutional Review Commission.