Emmotoka Ya Ggiya Abakazi Bagitya?

0
1255

Police eri ku kakuyege wa kwongera bukugu mu bakyala baayo abasussizza emyaka 5 mu buweereza okusobola okubateekateeka okwanganga omulabe mu bifo ebirimu obutabanguko ko n’entalo nga batuukiriza ekigendererwa ky’ekitongole ky’amawanga amagatte eky’okussa abakyala ku mwanjo ekya 1325.
Police ya uganda efunye emitwalo gya Doola 50 okuva mu Bugirimani okubayambako mu kutendeka abakyala okuvuga emmotoka zikirimaanyi ezibadde zibatiisa olwo abasajja nebabayitako. Okutendekebwa kuno kumaze wiiki 2 era nga waliwo enjawulo.