Okukuza Olunaku Lw'abajulizi Ba Uganda Abatukirivu

0
1187

Nasisi w’omuntu akulumuse okuva mubitundu by’ensi ebyenjawulo neyeyiwa ku kigwa ky’abajulizi e Namugongo okwetaba kubikujjuko byokujukira abajulizi ba Uganda abafirira eddiini.
Omusumba w’essaza ly’ekerezia ery’e Hoima Vincent Kirabo asinzidde eno nawa abakkiriza amagezi okunywerera mu bumu bwebalaze mu kukuza olunaku lw’abajulizi,
Bbo abapoliisi ku lunaku luno basabidde munnaabwe eyattibwa Andrew Felix Kaweesi, eyali omukuumi we Kenneth Erau n’eyali dereeva Godrey Wambewa.