Akakiiko Kaatulidde Muhakanizi

0
822

Omuwandiisi omukulu owa ministule y’ebyensimbi Keith Muhakanizi katono aggalirwe ku paalamenti oluvannyuma lwokunyiiza ababaka abatuula ku kakiiko akalodoola ensasanya y’ensimbi y’omuwi w’omusolo aka PAC.
Muhakanizi ayogedde ebitakwatakana ku buwumbi 720 Palamenti zeyakkiriza gavt okwewola e Kenya omwaka oguwedde, naye nga kati tezimanyiddwako mayitire.