UCC Ekutte Abafere Mukaaga

0
877

Ekitongole ekivunaanizibwa ku byempuliziganya mu ggwanga ki Uganda Communications Commission kikutte abantu 6 ababadde beenyigira mu bikolwa by’okucankalanya n’okutaataaganya amasimu eg’ebweru newano ekintu ekimenya amateeka. Abantu bano abaakwatiddwa olunaku lw’eggulo babadde bakozesa tekinologiya okukuba amasimu ag’ebweru nga tegasasuliddwa.