Bannabitone Batenderezza Gavumenti Llwokubawa Emidaali

0
1180

Mu bantu ebikumi 363 abaweereddwa emidaali eggwanga bwelyabadde likuza olunaku lw’abazira e Zirobwe mu district eye Luwero, abayimbi kko ne bannakatemba ng’okusingira ddala abo abaludde mu kintu nabo basiimiddwa olw’okwenyigira mu kaweefube w’okununula eggwanga nga beeyambisa ebitone byabwe.
Ku bano, abayimbi abazaawa era abaali aba Kadongo Kamu okuli Herman Basudde, Fred Masagazi, Paul Kafeero, Elly Wamala ne Hadija Namale baweereddwa emidaali egya zaabu olw’okutumbula ebitone by’okuyimba ne katemba ebizimbye eggwanga lino.