Obukiiko Bwa Paalimenti Bukyuse

0
958

Offisi ya Nampala wa gavumenti emalilizza okukola enkyukakyuka mu bukiiko bwa paalamenti obusinga nga ba Ssentebe abakoze obulungi omwaka oguwedde bakusigaza ebifo byabwe ate abo abatakoze bulungi bakujjibwaako obuvunanyizibwa obw’okukulembera obukiiko obwo.
Amyuka Nampala wa Gavumenti Solomon Silwany agamba nti olukalala lwe enkyukakyuka zzino lumazze okuwerezebwa mu lukiiko olwokuntikko olwa NRM, okulukakasa.