Abayiisa Walagi Ssi Basanyufu

0
881

Uganda y’emu ku mawanga agasinga okunywa omwenge mu Africa, ng’okunoonyereza kulaga nti Nigeria y’erina balujuuju abasing obungi.
Olw’okuba ng’omwenge kyakunywa ekikolebwa ne mu maka ga bantu, bangi banywa omwenge nebwebabeera tebalina yadde n’ekuba ennyonnyi.
Bw’otuukako e Wandago mu disitulikiti y’e Mayuge wamma tolema kukkiriza nti Uganda tebagiwaayiriza kunywa nnyo mwenge anti abali eno ennyonyi zibulako katono okubakungula empeke.