Museveni Yeeganye Eby'emyaka

0
1028

Omukulembeze w’eggwanga era nga ye ssentebe w’ekibiina ekiri mu buyinza ki NRM omulungi ogusookedde ddala ayogedde ku nsonga eri ku mimwa gya bannayuganda ensangi zino, ey’okukola ennongoosereza mu kawaayiro ka ssemateeka akateeka ekkomo ku myaka ayagala obwa pulezidenti kwalina okukoma.
Pulezidenti ye ebyegaanye, naagamba nti byappa era ye nga omuntu talina nteekateeka yonna ekyusa kaawaayiro kano nga agamba nti ebbugumu eririwo liva ku bantu baayogeddeko ngaabatalina mpisa nga bebasoosoonya banna NRM ku nsonga eno.
Omukulu abadde ayogerako ne bannamawulire mu maka goobwa pulezidenti Entebbe, era ku lwaffe Bushrah Namirimu yaabaddeyo.