Kizzalaggumba Kati Kya Bbeeyi Nnyo

0
949

Bannakyewa mu byobulamu babadde mu lusirika kati okumala ennaku nnya okusala entotto ku butya bwebayinza okwongera okuweereza Bannayuganda ku nsonga z’okuteekerateekera amaka, ekimanyiddwanga family planning naddala mu kiseera kino ng’obuyambi bukendede.
Olusiisira olwetabiddwamu abakugu okuva mu mawnga ageegattira mu mukago gwa east Africa luyindira Ntebe nga lwakukomekkerezebwa n’ekiwandiko namutaayika oba ekirambika butya bwebayinza okusolooza ensimbi okuvujjirira ebyobulamu naddala ensonga z’entegeka y’amaka emanyiddwa nga family planning.