Ekyaapa Kya State House Tekiriiko Mayitire

0
877

Ssentebe wa kakiiko ke ttaka aka Uganda land commission, Baguma Isoke yewuunyisizza akakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire bwabagambye nti n’okutuusa kati ekyapa ky’ettaka ly’amaka g’obwa president tekifunibwanga.
Baguma abadde aleese ebiwandiiko akakiiko by’ekamutuma wiiki ewedde lwe yasooka okulabikako, era alumirizza eyali minister w’ettaka, Daudi Migereko nga bweyalemesa Gavt okwezza ettaka lyayo eryatundibwa mu mankwetu e Jinja.